Psalms 73

EKITABO III

Zabbuli 73–89

Zabbuli ya Asafu.

1 aDdala Katonda mulungi eri Isirayiri
n’eri abo abalina omutima omulongoofu.

2Naye nze amagulu gange gaali kumpi okutagala
era n’ebigere byange okuseerera.
3 bKubanga nakwatirwa ab’amalala obuggya;
bwe nalaba ababi nga bagaggawala nnyo.

4Kubanga tebalina kibaluma;
emibiri gyabwe miramu era minyirivu.
5 cTebeeraliikirira kabi konna ng’abalala.
So tebalina kibabonyaabonya.
6 dAmalala kyegavudde gabafuukira ng’omukuufu ogw’omu bulago,
n’obukambwe ne bubafuukira ekyambalo.
7 eBagezze n’amaaso gaabwe ne gazimbagatana;
balina bingi okusinga bye beetaaga.
8 fBaduula era emboozi zaabwe zijjudde eby’okujooga.
Batiisatiisa abalala n’okubeeragirako.
9Emimwa gyabwe gyolekedde eggulu;
n’ennimi zaabwe zoogera eby’okwewaanawaana buli wantu.
10Abantu ba Katonda kyebava babakyukira
ne banywa amazzi mangi.
11Era ne beebuuza nti, “Katonda bino abimanyi atya?
Ali Waggulu Ennyo abitegeera?”

12 gAboonoonyi bwe bafaanana bwe batyo;
bulijjo babeera mu ddembe, nga beeyongera kugaggawala.

13 hDdala omutima gwange ngukuumidde bwereere obutayonoona,
n’engalo zange ne nzinaaba obutaba na musango.
14Naye mbonaabona obudde okuziba,
era buli nkya mbonerezebwa.

15Singa ŋŋamba nti njogere bwe nti,
nandibadde mukuusa eri omulembe guno ogw’abaana bo.
16 iBwe nafumiitiriza ntegeere ensonga eyo;
nakisanga nga kizibu nnyo,
17 jokutuusa lwe nalaga mu watukuvu wa Katonda,
ne ntegeera enkomerero y’ababi.

18 kDdala obatadde mu bifo ebiseerera;
obasudde n’obafaafaaganya.
19 lNga bazikirizibwa mangu nga kutemya kikowe!
Entiisa n’ebamalirawo ddala!
20 mBali ng’omuntu azuukuse n’ategeera nti yaloose buloosi;
era naawe bw’otyo, Ayi Mukama,
bw’oligolokoka olinyooma embeera yaabwe omutali nsa.

21Omutima gwange bwe gwanyiikaala,
n’omwoyo gwange ne gujjula obubalagaze,
22 nn’aggwaamu okutegeera ne nfuuka ataliiko kye mmanyi,
ne mba ng’ensolo obusolo mu maaso go.

23Newaakubadde ebyo biri bwe bityo naye ndi naawe bulijjo;
gw’onkwata ku mukono gwange ogwa ddyo.
24 oMu kuteesa kwo onkulembera,
era olintuusa mu kitiibwa.
25 pAni gwe nnina mu ggulu, wabula ggwe?
Era tewali na kimu ku nsi kye neetaaga bwe mba naawe.
26 qOmubiri gwange n’omutima gwange biyinza okulemwa;
naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange,
era ye wange ennaku zonna.

27 rKale laba, abo bonna abatakussaako mwoyo balizikirira;
kubanga bonna abatakwesiga obamalirawo ddala.
28 sNaye nze kye nsinga okwetaaga kwe kubeera okumpi ne Katonda wange.
Ayi Mukama Katonda, nkufudde ekiddukiro kyange;
ndyoke ntegeezenga abantu bonna ebikolwa byo eby’ekyewuunyo.
Copyright information for LugEEEE